Leviticus 17:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atalyoza byambalo bye wadde okunaaba omubiri, aneetikkanga omusango gw'ekyonoono kye.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’ataayozenga byambalo bye, n’okunaaba n’atanaaba, ye anaabanga yeeretedde obutali bulongoofu bwe okumusigalako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'ataabyozenga, n'atanaaba mubiri gwe, kale anaabangako obutali butuukirivu bwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bw'ataayozenga byambalo bye, era n'atanaaba mubiri, anaasigalanga si mulongoofu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'ataabyozenga, n'atanaaba mubiri gwe, kale anaabangako obutali butuukizivu bwe.