Leviticus 17:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga tamaze kugireeta ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano okugiweereza Omukama mu Kisulo ky'Omukama, anaavunaanibwanga okuyiwa omusaayi; anaabanga ayiye omusaayi, n'olw'ekyo wa kukutulwanga ku bantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga tagireese ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, okugiwaayo ng’ekirabo ekiweebwayo eri Mukama Katonda mu kisasi ky’Eweema ya Mukama; omuntu oyo anaabanga azzizza omusango ogw’okuyiwa omusaayi; olwokubanga ayiye omusaayi, anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'atagireeta ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, okugiwaayo okuba ekiweebwayo eri Mukama, mu maaso g'ennyumba ya Mukama; anaavunaanibwanga omusango gw'okuyiwa omusaayi, era anaaboolebwanga mu bantu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'atagireeta ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, okugiwaayo ng'ekitone eri Mukama mu maaso g'ekifo Mukama w'abeera, anaavunaanibwanga omusango ogw'okuyiwa omusaayi, era anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'atagireeta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okugiwaayo okuba ekitone eri Mukama mu maaso g'ennyumba ya Mukama: omusaayi gunaamubalirwanga omuntu oyo; ng'ayiye omusaayi; era omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be: