Leviticus 17:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kinaabanga bwe kityo Abayisirayeli ebitambiro byabwe bye baweereza eyo mu byalo babireetenga ewa kabona, babiweereze Omukama ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano, babiweereze Omukama ng'ekitambiro eky'okussa ekimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo kiri bwe kityo abaana ba Isirayiri balyoke balekeraawo okuweerangayo ebiweebwayo byabwe ebweru mu nnimiro, naye babireetenga awali Mukama Katonda. Kibagwanira okubireetanga eri Mukama babikwasenga kabona ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne biryoka bittibwa nga bye biweebwayo eri Mukama olw’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri balyoke baleetenga ssaddaaka zaabwe ze babadde baweerayo mu ttale mu bbanga, bazireetenga eri kabona ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, okuba ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekigendererwa mu tteeka lino, be Bayisirayeli okuleetanga eri Mukama ebitambiro byabwe bye babadde battira mu ttale mu bbanga, babireetenga eri kabona ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, babitte, bibe ebitambiro ebiweebwayo eri Mukama olw'okutabagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abaana ba Isiraeri balyoke baleetenga ssaddaaka zaabwe, ze baweerayo mu ttale mu bbanga bazireetenga eri Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona, ne baziwaayo okuba ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama.