Leviticus 17:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona anaamansiranga omusaayi ku mwaliiro gw'Omukama oguli ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano, n'amasavu n'agookera Omukama ng'akawoowo akasanyusa Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, amasavu n’agookya ne muvaamu akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ayokya amasavu okuba evvumbe eddungi eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabona anaamansiranga omusaayi ku alutaari ya Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'ayokya amasavu, ne galeeta evvumbe erisanyusa Mukama,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ayokya amasavu okuba evvumbe eddungi eri Mukama.