Leviticus 17:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga takireese ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano kukiweereza Mukama, wa kukutulwanga ku bantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga takireese ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, okukiwaayo eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'atakireeta ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu okukiwaayo eri Mukama; omuntu oyo anaaboolebwanga mu bantu be.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'atakireeta eri Mukama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'atakireeta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okukiwaayo eri Mukama; omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be.