Leviticus 18:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Teweebakanga ne muwala wa mutabani wo oba muwala wa muwala wo. Ekyo kikuweebuula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Teweebakanga na muwala azaalibwa mutabani wo, oba muwala w’omwana wo omuwala, n’okola naye ebyensonyi; ekyo ne kikuleetako obuswavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Teweegattanga na muzzukulu wo oba wa mulenzi oba wa muwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teweebakanga na mwana wa mutabani wo, oba owa muwala wo, kubanga ekyo kikuswaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensonyi za muwala wa mutabani wo, oba muwala wa muwala wo, ensonyi zaabwe tozibikkulangako: kubanga ensonyi zaabwe ze zizo ggwe.