Leviticus 18:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Teweebakanga ne muwala wa mukazi wa kitaawo gwe yamuzaalira, kubanga ddala oyo mwannyoko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Teweebakanga na mwana wa muka kitaawo ow’obuwala eyazaalibwa kitaawo n’omukolako ebyensonyi; oyo mwannyoko. Tomuleeteranga bya buswavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Teweegattanga na muwala wa kitaawo bwe mutagatta nnyammwe. Oyo mwannyoko, teweegattanga naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teweebakanga na muwala wa kitaawo bwe mutagatta nnyammwe, kubanga naye mwannyoko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensonyi za muwala wa mukazi wa kitaawo, kitaawo gw'azaala, oyo mwannyoko, tobikkulanga ku nsonyi ze.