Leviticus 18:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Teweebakanga ne muwala w'omukazi gwe weebakako naye. Era teweebakanga ne muwala wa mutabani we oba muwala wa muwala we, kubanga bano ba luganda lwe. Buno bugwenyufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Teweebakanga na mukazi ate ne muwala we n’okola nabo ebyensonyi. Era teweebakanga na mwana muwala owa mutabani wa mukazi oyo oba na mwana muwala owa muwala we; kubanga abo ba musaayi gwe gumu n’ogw’omukazi oyo. Ekyo kibi kinene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Teweegattanga na mukazi ate ne wegatta ne muwala we, so era teweegattanga na muzzukulu we, oba wa mulenzi oba wa muwala; ekyo kibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teweebakanga na mukazi, n'ogattako muwala we, oba muwala wa mutabani we, oba owa muwala we. Ekyo kivve, kubanga abo ba buko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tobikkulanga ku nsonyi z'omukazi n'eza muwala we; totwalanga muwala wa mutabani we, newakubadde muwala wa muwala we, okubikkula ku nsonyi ze; abo ba buko: ekyo kibi.