Leviticus 18:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Tosembereranga mukazi kwebaka naye ng'ali mu biseera eby'omwezi, w'atabeerera mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Tosembereranga mukazi ng’oyagala weebake naye omukoleko ebyensonyi ng’ali mu kiseera kye ekya buli mwezi eky’okuvaamu omusaayi mw’abeerera atali mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Teweegattanga na mukazi ali mu mbeera z'abakazi ez'okweyawula kwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Teweebakanga na mukazi mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, kubanga abalibwa obutaba mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tosembereranga mukazi okubikkula ku nsonyi ze, ng'akyayawulibwa olw'obutali bulongoofu bwe.