Leviticus 18:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Toddiranga n'omu ku baana bo n'omuwaayo awongerwe Moleki mu muliro, kubanga kigaanibwa okwonoona erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Mu baana bo towangayo n’omu ng’ekiweebwayo ekyokeddwa mu muliro eri Moleki, kubanga erinnya lya Katonda wo tosaanira kuliweebuulanga. Nze Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Towangayo ku zzadde lyo okuba ssaddaaka ey'omuliro eri Moleki, okuvumaganyisa erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Towangayo n'omu ku baana bo kuwongerwa lubaale Moleki, n'ovumaganya erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So towangayo ku zzadde lyo okubayisa mu muliro eri Moleki, so tovumisanga linnya lya Katonda wo: nze Mukama.