Leviticus 18:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Temweyonoonanga na bino byonna; amawanga gonna ge ŋŋenda okugoba mu maaso gammwe bwe gatyo bwe geeyonoona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Temwereetangako obutali bulongoofu nga mugoberera amayisa ago amabi; kubanga n’amawanga ge ŋŋenda okugoba mu nsi mwe mujja okuyingira bwe geefuula bwe gatyo agatali malongoofu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Temweyonoonanga n'ebyo byonna byonna; kubanga olw'ebyo byonna amawanga goonoonese ge ngoba mu maaso gammwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Temweyonoonanga nga mubaako n'ekimu ku ebyo kye mukola. Ebyo byonna bye byayonoona ab'amawanga ge ngoba mu nsi eno okuleetamu mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temweyonoonanga n'ebyo byonna byonna: kubanga olw'ebyo byonna amawanga goonoonese ge ngoba mu maaso gammwe: