Leviticus 18:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi bw'etyo yajaajaamizibwa, ne ngibonereza olw'ekibi kyayo, n'ensi yennyini n'esesema bannansi baamwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ensi n’efuuka etali nnongoofu, ne ngibonereza olw’ebyonoono byayo, n’abantu baamu abagibeeramu n’ebasesema.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ensi eyonoonese; kyenva mbagaanira ddala, ne mbazikiririza ddala okuva mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebikolwa byabwe byayonoona ensi eno, kyenva ngibonereza n'eggweeramu ddala abantu abaagirimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n’ensi eyonoonese: kyenva ngiwalanako obutali butuukirivu bwayo, n'ensi esesemera ddala abagituulamu.