Leviticus 18:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe mukwatenga amateeka gange n'ebiragiro byange. Abe muzaaliranwa oba omugwira asula mu mmwe, takolanga n'ekimu ku byenyinyalwa bino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mmwe mukuumenga ebiragiro byange n’amateeka gange. Abazaaliranwa ne bannamawanga abali mu mmwe tewabanga n’omu anaakolanga ku bintu ebyo n’akatono ebikyayibwa ennyo bwe bityo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mmwe mwekuumenga amateeka gange n'ebiragiro byange, so temukolanga bya mizizo ebyo byonna; enzaalwa oba munnaggwanga atuula mu mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baakola ebyenyinyalwa ebyo byonna, ne boonoona ensi. Naye mmwe temuubikolenga. Mwenna Abayisirayeli n'abagwira ababeera mu mmwe, mukuumenga amateeka n'ebiragiro byange,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mmwe mwekuumenga amateeka gange n'emisango gyange, so temukolangako ku by'emizzo ebyo byonna byonna; newakubadde enzaalwa, newakubadde omugenyi atuula mu mmwe: