Leviticus 18:27 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino byonna bannansi abaabakulembera baabikola, ensi ne bagijaajaamya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ebintu ebyo byonna byakolebwanga abantu abaabasooka mmwe okubeera mu nsi omwo, ensi n’efuuka etali nnongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja abaasooka mu nsi baakola eby'emizizo ebyo byonna ensi n'eyonooneka;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(kubanga eby'emizizo ebyo byonna abasajja, ab'omu nsi baabikolanga, abaabasooka, n’ensi eyonoonese;)