Leviticus 18:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwekkaanye, nammwe bwe munagijaajaamya, ejja kubasesema nga bwe yasesema amawanga agaabasooka okubaayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi eyo bwe muligifuula etali nnongoofu, egenda kubasesema nga bwe yasesema amawanga agaabasooka okugibeeramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nammwe nneme okubagaana, n'okubazikiririza ddala nga bwe nnakola eggwanga ery'abasooka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
muleme kugobwa mu nsi eno, ng'abantu abaasooka mmwe okugibeeramu bwe baagyonoona ne bagobwamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ensi ereme okubasesemera ddala nammwe, bwe mugyonoonanga, nga bwe yasesemera ddala eggwanga eryabasooka.