Leviticus 18:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu yenna anaabanga akoze ekimu ku byenyinyalwa bino, wa kukutulwanga ku bantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Abantu bonna abanaakolanga ebintu ebyo ebibi ebikyayibwa ennyo, abantu ng’abo banaagobwanga ne bagaanibwa okukolagana ne bannaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna bw'anaakolanga ku by'emizizo ebyo, anaaboolebwanga mu bantu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli anaabangako ky'akola ku byenyinyalwa ebyo, anaabanga takyabalirwa mu bantu bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omuntu yenna bw'anaakolanga kyonna ku by'emizizo ebyo, abantu abo abaabikola banasibwanga okubaggya mu bantu baabwe.