Leviticus 18:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temukolanga ng'ab'e Misiri gye mwabeeranga bwe baakolanga, era temukolanga ng'ab'omu Kanaani gye mbatwala bwe bakola. N'empisa zaabwe temuzigobereranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temusaana kweyisanga mu bikolwa byammwe ng’ab’omu Misiri, gye mwabeeranga, bwe beeyisa, era temusaana kweyisanga ng’ab’omu Kanani, gye mbatwala, bwe beeyisa. Temutambuliranga mu mateeka gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temukolanga ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi y'e Misiri gye mwatuulangamu, newakubadde eby'omu nsi ey'omu Kanani gye mbatwalamu, so temutambuliranga mu mpisa zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuugobererenga mpisa za bantu b'e Misiri gye mwabeeranga, wadde ez'abantu b'omu nsi y'e Kanaani, gye mbatwalamu. Temuutambulirenga ku mateeka gaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi y'e Misiri, gye mwatuulangamu, temukolanga bwe mutyo: era ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi ya Kanani, gye ndibatuusaamu, temukolanga bwe mutyo: so temutambuliranga mu mateeka gaabwe.