Leviticus 18:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukwatenga bye nakuutira, muleke kuyisa mpisa mbi abaabakulembera ze baayisa, muleme kweyonoona olw'okubeera byo. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukwatenga amateeka gange, nga mwewalanga okukola ebyonoono ebyo ebikyayibwa eby’amayisa amabi, abo abaabasooka ge beeyisanga si kulwa nga gabafuula abatali balongoofu. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyemunaavanga mwekuuma bye mbakuutira, obutakolanga mpisa yonna ku ezo ez'omuzizo ezakolebwanga abaabasooka. Nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale mukuumenga bye mbakuutira, mulemenga kugoberera mpisa ezo ezeenyinyalwa, ezaagobererwanga abo abaasooka mmwe okubeera mu nsi eno, era mulemenga kweyonoona nga mukola ebyo. Nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyemunaavanga mwekuuma bye mbakuutira, obutakolanga yonna ku mpisa ezo ez'emizizo, ezaakolebwanga okusooka mmwe, n'obuteeyonoonanga n'ezo: nze Mukama Katonda wammwe.