Leviticus 18:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange; oyo abituusa aliba mulamu olw'okubeera byo. Nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugonderenga ebiragiro byange awamu n’amateeka gange, kubanga buli muntu anaabikwatanga mu byo mwanaatambulizanga obulamu bwe. Nze Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mwekuumenga amateeka gange n'ebiragiro byange; ebyo omuntu bw'anaabikolanga, anaabanga mulamu: Nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugobererenga amateeka n'ebiragiro bye mbawa. Anaabituukirizanga, anaabanga mulamu. Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mwekuumenga amateeka gange n'emisango gyange; ebyo omuntu bw'anaabikolanga, anaabanga mulamu olw'ebyo: nze Mukama.