Leviticus 18:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Tewabangawo omuntu asemberera ow'oluganda lwe okwebaka naye. Nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Tewabanga omuntu yenna mu mmwe ajja eri munne gw’alinako oluganda ne yeebaka naye. Nze Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Tewabanga ku mmwe anaasembereranga ow'obuko yenna, okwegatta naye. Nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tewaabenga ku mmwe asemberera wa buko yenna okwebaka naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewabanga ku mmwe anaasembereranga ow'obuko yenna, okubikkula ku nsonyi ze: nze Mukama.