Leviticus 18:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Toweebuulanga kitaawo nga weebaka ne nnyoko; oyo nnyoko, teweebakanga naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Toleeteranga kitaawo buswavu ng’okola ebyensonyi ne nnyoko. Oyo ye maama wo eyakuzaala, teweebakanga naye ne mukola ebyensonyi, n’omuleetako obuswavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Toswazanga kitaawo nga wegatta ne nnyoko. Nnyoko teweegattanga naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Toswazanga kitaawo nga weebaka ne nnyoko. Nnyoko teweebakanga naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensonyi za kitaawo, ze nsonyi za nnyoko, tozibikkulangako: ye nnyoko; tobikkulanga ku nsonyi ze.