Leviticus 18:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Teweebakanga ne muka kitaawo. Ekyo kiweebuula kitaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Teweebakanga na muka kitaawo ne mukola ebyensonyi, ekyo kireetera kitaawo obuswavu ne kimumalamu ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Teweegattanga na musika wa nnyoko okuswaza kitaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Toswazanga kitaawo ng'obaako n'omu ku bakazi be abalala gwe weebaka naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tobikkulanga ku nsonyi za musika wa nnyoko: ze nsonyi za kitaawo.