Leviticus 18:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Teweebakanga ne mwannyoko oba ne muwala wa kitaawo, oba mubbeere wo, abeere ng'azaalibwa awo awaka oba walala; teweebakanga naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Teweebakanga na mwannyoko, azaalibwa kitaawo, oba azaalibwa nnyoko, ne bwe muba nga mwakulira mu maka gamu oba nga temwakulira wamu, tomukolangako bya nsonyi okumuleetera obuswavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Teweegattanga na mwannyoko azaalibwa kitaawo oba azaalibwa nnyoko, abeere nga yazaalibwa waka oba walala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teweebakanga na mwannyoko, omwana wa kitaawo, oba owa nnyoko, k'abe nga yakulira wamu naawe awaka, oba nga yakulira walala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensonyi za mwannyoko azaalibwa kitaawo, azaalibwa nnyoko, oba yazaalibwa waka, yazaalibwa walala, ensonyi zaabwe tozibikkulangako.