Leviticus 19:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'onoze mu nnimiro yo ey'emizabbibu togiddangamu gwa kubiri, n'ebirimba ebigenda bisigalira mu by'okungula tobikuŋŋaanyanga, obirekeranga abaavu n'abagwira. Nze Mukama Katonda wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennimiro yo ey’emizabbibu togimalirangamu ddala bibala byonna, n’ebyo ebibanga bigudde wansi tobikuŋŋaanyanga. Obirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
so temumalirangamu ddala bibala bya mizabbibu, so temuddengayo kulonderera bibala biba bikunkumuse; on'obirekeranga omwavu ne munnaggwanga: Nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era temuddengayo mabega mu nnimiro zammwe kukuŋŋaanya birimba ebiba bisigalidde, wadde okulonderera ebiba bikunkumuse. Mubirekeranga abaavu n'abagwira. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So toyeranga mu lusuku lwo olw'emizabbibu, so tokuŋŋaanyanga bibala ebikunkumuka mu lusuku lwo olw'emizabbibu; onoobirekeranga omwavu n'omugenyi: nze Mukama Katonda wammwe.