Leviticus 19:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tolayiranga linnya lyange bitaliimu n'ovuma erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tokozesanga linnya lyange ng’olayira ebitaliimu nsa, n’ovumisa erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So temulayiriranga bwereere linnya lyange, n'okuvumisa ne muvumisa erinnya lya Katonda wammwe: Nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuulayirirenga bwereere linnya lyange kulivumaganya. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
temulayiriranga bwereere linnya lyange, n'okuvumisa n'ovumisa erinnya lya Katonda wo: nze Mukama.