Leviticus 19:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tolyazaamaanyanga munno, tomunyaganga. Empeera y'omukozi tosigalanga nayo okutuusa enkeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muliraanwa wo tomujooganga so tomunyagangako bibye. “Tosulanga na mpeera ya mupakasi wo n’omala nayo ekiro kyonna okutuusa enkya nga tonnagimusasula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tojooganga muliraanwa wo, so tomunyaganga; empeera y'omukozi tosulanga nayo okukeesa obudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Temuuyiikirizenga bannammwe, wadde okunyaga ebyabwe. Empeera y'omukozi gw'okozesezza, toogiremerenga wadde ekiro ekimu kyokka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tojooganga muliraanwa wo, so tomunyaganga: empeera y'omusenze akolera empeera tosulanga ng'oli nayo okukeesa obudde.