Leviticus 19:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kiggala tomuvumanga, ne muzibe tomuteganga kintu kw'aneesittala, wabula otyanga Katonda wo. Nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuggavu w’amatu tomukolimiranga, so n’omuzibe w’amaaso tomuteganga nkonge w’anaayita, naye otyanga Katonda wo. Nze Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tokolimiranga muggavu wa matu, so toteerangawo muzibe w'amaaso nkonge okugyesittalako, naye onootyanga Katonda wo: Nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tookolimirenga kiggala, era ne muzibe toomuteekerengawo muziziko kwekoonako, naye onootyanga nze, Mukama Katonda wo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tokolimiranga muggavu wa matu, so tomuteekerangawo nkonge omuzibe w'amaaso, naye onootyanga Katonda wo: nze Mukama.