Leviticus 19:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo. Munno omwatuliranga oleme kubeera na musango naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muganda wo tomukyawanga mu mutima gwo. Naye munno ng’asobezza, omunenyanga, si kulwa nga naawe ogwa mu kibi nga ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo, tolemanga kunenya muliraanwa wo, oleme okubaako ekibi ku lulwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tookyawenga munno mu mutima gwo, naye omunenyanga ne biggwa, oleme okumukolako ekibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo: tolemanga kunenya muliraanwa wo, oleme okubaako ekibi ku lulwe.