Leviticus 19:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Towooleranga ggwanga oba okusibira bantu b'eggwanga lyo obusungu, wabula oyagalanga munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala. Nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Towalananga ggwanga oba okusiba ekiruyi ku mwoyo eri munno yenna ow’omu nsi yo, naye yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Nze Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Towalananga ggwanga, so tobanga na kiruyi eri mulirwanaawo, naye onoomwagalanga nga bwe weeyagala wekka: Nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Toowoolerenga ggwanga ku muntu n'omu, era toomusibirenga kiruyi. Naye oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini. Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Towalananga ggwanga, so tobanga na nge yonna eri abaana b'abantu bo, naye onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka: nze Mukama.