Leviticus 19:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omusajja bwe yeebakanga n'omukazi nga muzaana ayogerezebwa, naye nga tannaba kununulibwa oba okuteebwa, anaabonerezebwanga, naye bombi si ba kuttibwa, kubanga omuzaana yali tannateebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omusajja bw’aneebakanga n’omuddu omukazi n’amusobyako, naye ng’omukazi oyo tannaweebwa ddembe lye, kyokka ng’aliko omusajja amwogereza, wanaabangawo okuwozesebwa n’ebibonerezo, naye tebattibwenga, kubanga omukazi anaabanga tannaweebwa ddembe lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Buli anaasulanga n'omuzaana ayogerezebwa omusajja omulala, era nga tanunulwanga, so nga taweebwanga ddembe, bombi banaabonerezebwanga, naye tebattibwenga, kubanga omuzaana yali tanunulwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omusajja bw'aneebakanga n'omuzaana ayogerezebwa omusajja omulala, kyokka ono nga tannasasula bintu, era ng'omuzaana taweereddwa ddembe, omusajja oyo n'omuzaana banaabonerezebwanga, naye tebattibwenga, kubanga omuzaana taba wa ddembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli anaasulanga n'omukazi, naye nga muzaana, ng'aliko bba amwogereza, era nga tanunulwanga n'akatono, so nga taweebwanga ddembe; banaabonerezebwanga, tebattibwanga, kubanga teyali wa busa.