Leviticus 19:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona yeeyambanga endiga eyo ey'ekitambiro olw'omusango n'addaabiriza ku lulwe mu maaso g'Omukama olw'ekibi ky'aliba akoze, era olwo ekibi kinaamusonyiyibwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaakozesanga endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango okutangiririra omusajja oyo eri Mukama; era ekibi kye ky’anaabanga akoze kinaamusonyiyibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaamutangirizanga endiga eyo ey'ekiweebwayo olw'omusango mu maaso ga Mukama olw'ekibi kye yakola; era anaasonyiyibwanga ekibi kye yakola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaakozesanga ekiweebwayo ekyo, okuddaabiriza ku lw'omusajja oyo mu maaso ga Mukama, olw'ekibi kye yakola, ne kimusonyiyibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona anaamutangirizanga endiga ennume ey'ekiweebwayo olw'omusango mu maaso ga Mukama olw'ekibi kye yakola; kale anaasonyiyibwanga ekibi kye yakola.