Leviticus 19:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Bwe muyingiranga mu nsi ne musimba emiti egya buli ngeri egibala ebibala, ebisookera ddala bizira. Okumala emyaka esatu ng'omuti ogwo guzira, temugulyangako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe muyingiranga mu nsi ne musimba emiti egya buli ngeri egy’ebibala ebyokulya, mukitegeere nti ebibala byagyo biriba ng’ebiwereddwa. Biriwerebwa okumala emyaka esatu; tebijjanga kuliibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era bwe mubanga muyingidde mu nsi eyo, era nga mumaze okusimba emiti egy'engeri zonna egy'ebibala ebiriibwa, ebibala ebyo temubiryangako okumala emyaka esatu kubanga biriba si birongoofu gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe mulituuka mu nsi y'e Kanaani ne musimba emiti egy'ebibala egya buli ngeri, ebibala byagyo mulibiyita ebitali birongoofu okumala emyaka esatu. Okumala emyaka egyo esatu, temuubiryengako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe mubanga muyingidde mu nsi eyo, era nga mumaze okusimba emiti egy'engeri zonna egiriibwako, ne mulyoka muyita ebibala byagyo obutakomolwa bwagyo: emyaka esatu binaabanga gye muli ng'ebitali bikomole tebiriibwangako.