Leviticus 19:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwokuna buli kibala kyakwo kiribanga kitukuvu, ekiwongeddwa Omukama okumuwa ettendo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogwokuna ebibala byako byonna binaabanga bitukuvu, nga kye kiweebwayo eri Mukama eky’okumutendereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mu mwaka ogwokuna ebibala ebyo byonna biriba bitukuvu, olw'okutendereza Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogwokuna, ebibala byonna biriwongerwa nze Mukama okunneebaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mu mwaka ogw'okuna ebibala byayo byonna biriba bitukuvu, olw'okutendereza Mukama.