Leviticus 19:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwokutaano muyinzanga okulya ku bibala byagyo, olwo amakungula gaabyo galibaddira. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mu mwaka ogwokutaano munaayinzanga okulya ku bibala byako. Mu ngeri eno ebibala byako bigenda kweyongeranga nnyo. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mu mwaka ogw'okutaano mulirya ku bibala ebyo. Bwe mulituukiriza ebyo byonna mulifuna ekyengera: Nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mu mwaka ogwokutaano, mulirya ku bibala by'ensi eyo. Ebyo bwe mulibituukiriza, mulifuna ekyengera. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu mwaka ogw'okutaano mulirya ku bibala byayo, ebawe ekyengera kyayo: nze Mukama Katonda wammwe.