Leviticus 19:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Togwagwawazanga muwala wo ng'omuwaayo mu bwamalaaya, sikulwa ng'ensi eyonooneka n'ejjula obugwenyufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tofuulanga mwana wo omuwala ekivume ng’omufudde omwenzi, kubanga kirireetera abantu mu nsi yo okufuuka abenzi, n’ensi n’ejjula okwonoona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Temwonoonanga bawala bammwe nga mu bawaayo mu bwenzi, ensi ereme okwonooneka olw'obwenzi, n'ejjula ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Temuujaajaamyenga bawala bammwe nga mubawaayo mu bwenzi, ensi ereme kwonooneka na kujjula mpisa mbi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tovumisanga muwala wo, okumufuula omwenzi; ensi creme okugoberera obwenzi, ensi n'ejjula ekibi.