Leviticus 19:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Temwekubiiranga ku ndagu oba abasamirira emizimu, kubanga bagenda kuboonoona. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Temwebuuzanga ku basamize oba okukyukiranga abalogo, kubanga bagenda kubaleetera okwonooneka. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Temugendanga eri abasamira emizimu, newakubadde abalogo; temubanoonyanga muleme okwonooneka: Nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Temuugendenga kwebuuza ku basamize, wadde ku balogo. Temuunoonyenga gye bali, muleme kwonooneka. Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temukyukiranga abo abasamira emizimu, newakubadde abalogo; temubanoonyanga, okwonooneka olw'abo: nze Mukama Katonda wammwe.