Leviticus 19:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Awali ow'envi oyimiriranga; omukadde omussangamu ekitiibwa n'otya Katonda wo. Nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ositukiranga ow’envi, n’omukadde omussangamu ekitiibwa, era ne Katonda wo omutyanga. Nze Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g'omukadde, era otyanga Katonda wo: Nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Museguliranga abakaddiye, era mubassangamu ekitiibwa. Era muntyanga nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g'omukadde, era otyanga Katonda wo: nze Mukama.