Leviticus 19:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula omugwira abeera nammwe omutwalanga ng'omuzaaliranwa; omwagalanga nga bwe weeyagala, anti nammwe mwali bagwira mu nsi y'e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omugwira atuula mu mmwe mumuyisenga ng’omuzaaliranwa ow’omu nsi yammwe. Mumwagalenga nga bwe mweyagala, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munnaggwanga anaatuulanga nammwe anaabanga gye muli ng'enzaalwa mummwe, era munaamwagalanga nga bwe mweeyagala mwekka, kubanga nammwe mwali bagenyi mu nsi y'e Misiri: Nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mubayisenga nga Bayisirayeli bannammwe, era mubaagalenga nga bwe mweyagala mwennyini, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y'e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugenyi anaatuulanga nammwe anaabanga gye muli ng'enzaalwa mummwe, era omwagalanga nga bwe weeyagala wekka, kubanga mwali bagenyi mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wammwe.