Leviticus 19:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mweyambenga minzaani entuufu, amayinja amatuufu, efa entuufu ne yini entuufu. Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mubanga ne minzaani entuufu, n’amayinja agapima obuzito amatuufu, n’ekipima ebikalu (efa) ekituufu, n’ekipima ebiyiikayiika ng’amazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munaabanga ne minzaani entuufu, n'ebigera ebituufu, efa entuufu, ne ini entuufu: Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukozesenga minzaani entuufu n'ebipimo byonna ebituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munaabanga ne minzaani ntuufu, n'ebigera bituufu, efa ntuufu, ne ini ntuufu: nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri.