Leviticus 19:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Temwekubiiranga ku bifaananyi bya balubaale, era temwekoleranga balubaale basaanuuse. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Temulaganga mu bitali Katonda, era temwekoleranga bakatonda abaweese mu kyuma ekisaanuuse. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temunvangako ne musinza ebifaananyi, so temwekoleranga bakatonda basaanuuse: Nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Temunvengako kusinza bintu bitaliimu, era temwekolerenga balubaale mu kyuma kisaanuuse kubasinza. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temukyukiranga bifaanaayi, so temwekoleranga bakatonda basaanuuse: nze Mukama Katonda wammwe.