Leviticus 19:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Bwe muweerezanga Omukama ekitambiro eky'okussa ekimu, mukitambiranga mu ngeri esaanidde kiryoke kisiimibwe ku lwammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo olw’emirembe, mukiwengayo mu butuufu kiryoke kikkirizibwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama, munaagiwangayo mulyoke mukkirizibwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era bwe munaawangayo gye ndi, Nze Mukama, ekitambiro eky'ebiweebwayo eby'okutabagana, munaakiwangayo mu ngeri esaanidde, kiryoke kikkirizibwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama, munaagiwangayo era mukkirizibwe.