Leviticus 19:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kiriibwanga ku lunaku lwe kitambirwanga ne ku lunaku oluddirira; buli kyonna ekiribanga kisigaddewo okutuusa ku lwokusatu, kyokebwanga bwokebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kinaalibwanga ku lunaku olwo lwe kinaaweebwangayo oba enkeera; ekinaabanga kisigaddewo okutuusa ku lunaku olwokusatu kinaazikiribwanga mu muliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munaagiriiranga ku lunaku olwo lwe mugiweereddeko n'oluddirira, era bw'efikkangawo okutuusa ku lunaku olwokusatu eneeyokebwanga n'omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kinaaliirwanga ku lunaku olwo lwe munaakiweerangayo, ne ku luddirira. Kyonna ekinaasigalangawo okutuusa ku lunaku olwokusatu, kinaayokebwanga omuliro,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olwo lwe munaagiweeraagako kwe munaagiriiranga, ne ku lw'enkya: era ekintu kyonna bwe kinaafikkangako okutuusa ku lunaku olw'okusatu, kinaayokebwanga omuliro.