Leviticus 19:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiririibwanga ng'olwokubiri luyise, kiriba kyenyinyalwa, tekirisiimibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa kiriibwa ku lunaku olwokusatu tekiibenga kirongoofu, era tekikkirizibwenga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Etuusizza olunaku olwokusatu, teribwangako n'akatono; yamuzizo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga olwo kinaabanga kifuuse ekitali kirongoofu, era bwe kinaaliibwanga ku lunaku olwo olwokusatu, sikkirizenga kitambiro ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe kinaaliibwangako n'akatono ku lunaku olw'okusatu, kiba kya muzizo; tekikkirizibwenga: