Leviticus 19:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alibanga akiridde aneetikkanga omusango gw'ekyonoono kye, kubanga anaabanga ajaajaamizza ekitukuvu ky'Omukama era oyo akutulwanga ku bantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne buli anaakiryangako anaabanga azzizza omusango; kubanga anaabeeranga aweebudde ekintu kya Mukama ekitukuvu; omuntu oyo anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli anaakiryangako anaabanga atali mutuukirivu, kubanga ayonoonye ekintu ekitukuvu ekya Mukama era anaazikirizibwanga okuva mu bantu be.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli anaakiryangako taabenga mulongoofu, olw'okujaajaamya ekintu ekitukuvu ekya Mukama, era omuntu oyo anaabanga takyabalirwa mu bantu bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye buli anaakiryangako anaabangako obutali butuukirivu bwe, kubanga avumisizza ekintu ekitukuvu ekya Mukama: era omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be.