Leviticus 19:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Bwe mukungulanga bye mubazizza, tokungulanga ddala kutuuka ku lubibiro lwa nnimiro yo; ebirimba ebigenda bisigalira tobikuŋŋaanyanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’okungulanga ekyengera eky’omu ttaka lyo, tokunguliranga ddala ebibala byonna eby’omu nnimiro yo okutuuka ku nkomerero zaayo, oba okukuŋŋaanya obubala obutonotono obunaabanga bugudde wansi ng’okungula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bwe munaabanga mukungula ebirime byammwe, temubimalirangamu ddala byonna mu nnimiro zammwe, so temuddangayo kulonderera ebiba bisigaddemu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe munaabanga mukungula ebirime byammwe, temuumalirengayo ddala ebisembayo ku nsalosalo z'ennimiro zammwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe munaakungulanga ebikungulwa by'ensi yammwe, tomaliranga ddala kukungula nsonda za nnimiro yo, so tokuŋŋaaayanga ebyerebwa ku bikungulwa byo.