Leviticus 2:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Oli bw'aweerezanga Omukama ekitone eky'obuwunga, ky'aweereza atoolanga kya buwunga obw'eŋŋano obukuŋŋunte obulungi, n'ayiwako omuzigo n'assaako n'obubaani,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omuntu yenna bw’anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke; empeke anaamalanga kuzisa, n’aleeta obuwunga obulungi. Anaabufukangako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’ateekako n’obubaane,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era omuntu yenna bw'awangayo ekiweebwayo eky'obutta eri Mukama, kinaabanga kya butta bulungi; era anaabufukangako amafuta n'abuteekako omugavu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu bw'anaawangayo eri Mukama ekitone eky'emmere ey'empeke, anaamalanga kukisekulamu buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi. Anaayiwangako omuzigo, n'ateekako n'obubaane,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu yenna bw'awangayo ekitone eky'obutta obuweebwayo eri Mukama ekitone kye kinaabanga kya butta bulungi: era anaabufukangako amafuta n'abuteekako omugavu: