Leviticus 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyonna ekiba kisigaddewo ku kitone eky'obuwunga, kya Aroni ne batabani be; ekitundu ekitukuvu ennyo eky'ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ekinaafikkanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, Alooni ne batabani be, be banaakitwalanga; nga kye kitundu ekitukuvu ennyo ekibalirwa ku biweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekyo ekinaafikkangawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be; kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekisigaddewo ku kiweebwayo eky'obuwunga, kinaabanga kya bakabona. Kitukuvu nnyo, kubanga kitooleddwa ku kitone ekiweebwayo eri Mukama okwokebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekyo ekinaafikkangawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be: kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro.