Leviticus 2:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Buli kitone eky'obuwunga kye muweereza Omukama, temugoyerangamu kizimbulukusa, kubanga ekizimbulukusa oba omubisi gw'enjuki temubyokeranga mu kitone ekiwongere Omukama n'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Temuleeteranga Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kiteekeddwamu n’ekizimbulukusa; kubanga temuuyokyenga kizimbulukusa wadde omubisi gw’enjuki ng’ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewabangawo kiweebwayo kya butta, kye munaawangayo eri Mukama, ekitabuddwamu ekizimbulukusa; temwokyanga ekizimbulukusa kyonna, newakubadde omubisi gw'enjuki gwonna, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tewaabengawo kitone kya buwunga kinaaweebwangayo eri Mukama nga kikoleddwa n'ekizimbulukusa. Temuukozesenga kizimbulukusa wadde omubisi gw'enjuki, mu kiweebwayo eri Mukama okwokebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewabangawo kiweebwayo kya butta, kye munaawangayo eri Mukama, ekikolebwa n'ekizimbulukusa: kubanga temwokyanga ekizimbulukusa kyonna, newakubadde omubisi gw'enjuki gwonna, okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.