Leviticus 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muyinza okubiweereza ng'ebibala ebisooka, naye olwo si bya kwokera ku mwaliiro okuweerezebwa ng'akawoowo akasanyusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaabireetanga eri Mukama ng’ebiweebwayo eby’ebibala ebibereberye, naye tebiiweerwengayo ku kyoto okubeera evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo munaabiwangayo eri Mukama okuba ebiweebwayo eky'ebibereberye; naye tebirinnyisibwanga ku kyoto okuba evvumbe eddungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaawangayo eri Mukama ebitone eby'ebibala ebisooka okukungulwa buli mwaka, naye tebiiyokebwenga ku alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo munaabiwangayo eri Mukama okuba ekitone eky'ebibereberye: naye tebirinnyisibwanga ku kyoto okuba evvumbe eddungi.