Leviticus 2:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli kitone kyo eky'obuwunga olungangamu omunnyo; tekibulangamu omunnyo ogw'endagaano ya Katonda wo; buli kitone kyo okirungangamu omunnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiweebwayo byo byonna eby’emmere ey’empeke onoobirungangamu omunnyo: tokkirizanga munnyo ogw’endagaano ne Katonda wo okubula mu biweebwayo byo eby’emmere ey’empeke; mu biweebwayo byo byonna ossangamu omunnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli kiweebwayo ky'onoowangayo on'okirungangamu omunnyo, kubanga omunnyo ke kabonero ak'endagaano wakati wo ne Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kitone eky'obuwunga, onookirungangamu omunnyo, kubanga omunnyo ke kabonero k'endagaano wakati wo ne Mukama. Ebitone byo byonna obirungangamu omunnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli kitone eky'obutta bw'onoowangayo onookirungangamu omunnyo; so tokkirizanga ky'owaayo eky'obutta okubulwa omunnyo ogw'endagaano ya Katonda wo: awamu n'ebitone byo byonna onoowangayo omunnyo.